Abagoba ba BodaBoda mu kibuga kye Mukono balangiridde nti bakuwagira omuntu oba ekibiina kyebyobufuzi mu kalulu akajja nga balina webafunira.
Bagamba aba NRM babesibako era babagaana okuwagira aba Opposition songa bbo kyebatunulidde ye muntu anabakyusaako ku mbeera nebyenfuna byabwe. Okwogera bino mu bukambwe kivudde ku
Ssabawandiisi wa NRM Kasule Lumumba gwebabadde bategese okusisinkana ku Sunday naye natalabikako.
Mu ngeri yeemu aba BodaBoda balabuddwa bafeeyo okufuna ebiwandiiko ebibogerako nga bakolera mu kibuga.
Ssentebbe wabwe Musasizi Moses agambye bali mu kutya olwobumenyi bwamateeka, ekisubirwa nti waliwo ababerimbilamu.