
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao agamba nti keekadde akakiiko akalondesa kanyonyole ku ani omutuufu alina okulonda
Mao agamba nti kyannaku nti okulond kusembedde naye ng’emivuyo miyitirivu ku lukalala olugenda okukozesebwa mu kulonda.
Ono agamba nti emyezi ena emabega, abadde alwana kulaba nti erinnya lye lidda ku lukalala lw’abagenda okulonda kyokka nga bamulemesa
Yye munnamateeka we Nicholas Opio agamba nti akakiiko akalondesa tekalina buyinza kukyuusa nkalala nga bwekategeeza
Opio agamba nti Mao alina kaadi entuufu eyabadde esobola okukozesebwa okumuwandiisa mu kifo ky’okumugoba.