
Abasawo b’ebikwangala 12 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ab’ekibiina kya Allied Health professional’s council.
Obulwaliro 7 bwo buggaddwa lwabutatuukiriza byetaago
Omu ku bakwatiddwa ye Dr. Drake Kizito omukulu e Mengo ng’alina eddwaliro e Kawuga
Atwala ebyobulamu mu Buganda Micheal Mubiru Kayizzi agambye nti bagaala kukoma ddala ku bantu bano kubanga basusse okubba abantu
Ekikwekweto kino kyakugendera ddala mu maaso okutuuka omwka ogujja