Skip to content Skip to footer

Bana balumiziddwa mu kabenje

beer truck

Abantu 6 balumiziddwa mu kabenje akaguddewo amakya gaalero oluvanyuma lwa trailer okutomeragana na taxi ku luguudo oluva e Jinja okudda e iganga.

Dereva wa Taxi number UAS 121 abadde agezaako okuyisa trailer KAV 900 x emmotoka nemulemerera n’eva ku luguudo neyevulungula enfunda eziwera.

Aduumira police e iganga caroline Akoth agamba akabenje kavudde kukuvugisa kimama.

Akabenje kano kaddiridde ate akalala akabaddewo kmu kiro nga keetabiddwaamu ki loole ky’amafuta number KBC 468C  ne Taxi kyokka nga tewali yalumiziddwa

Leave a comment

0.0/5