Bya Damalie Mukhaye
Banamawulire ababadde baakedde, okulinda abakungu ba gavumenti okubabuliira ku byatukiddwako mu lutuula lwaba minister akawungeezi akayise, bekandazze nebafuluma okuva ku Media Center wano mu Kampala, obudde bwebugenderedde nga tewali mukungu wa gavumenti alabikako.
Banamawulire bagamba nti babategezezza ssaawa 4 wabula balinze okutuuka kyenkana ssaawa 6.
Abamu ku banamwulire balumirizza minister webyamwulire, Franka Tumwebaze nti yenkola ye atuuka kikerezi, kalenga alinga atababalaamu magezi.
Wabula omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, bwatukiriddwa yetonze.
Atugambye nti aba ministry yebyobuli bebabadde batekeddwa okujja nga waliwo byebalina okubuliira egwanga.