Bya Abubaker Kirunda
Gavumenti etegezezza nti egenda kuzimba olutindo olwendabirwamu ku Source of River Nile wali e Jinja nekigendererwa okutumbula ebyobulambuzi.
ssentebbe owekitongole kya Uganda Tourism Board Daudi Migereko agambye nti kino kyakuyamba, okubeera ekiffo abalambuzi webasinziira okulaba ensibuko yomugga Kiira.
Migereko abadde ayogerako eri abantu wakati mu kwetegekera, ebikujjuko byolunnaku lwebyobulambuzi olwa World tourism day, olugenda okubaawo ku Lowkuna lwa wiiki eno e Jinja.
Agambye nti okuzimba ekiffo kino kugenda kutandika essaawa yonna.
Wano agembye nti bagenda kuzimbawo ne woteeri galikwoleka era eyendabirwamu,okusuzanga abalamuzi.