Skip to content Skip to footer

Banna-NRM bawanda muliro eri FDC olw’okuzira Olukungaana lwa IPOD

Bya Ritah Kemigisa

Abekibiina kya NRM bambalidde aba FDC, olwobutetaba mu lukungaana lwabakulembeze bebibiina mu mukago ogwa IPOD.

Olukungaana luno bwerubadde lugulwawo amakya ga leero ku Speke Resort e Munyonyo, ssbawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba agambye nti kimalamu amanyi, okulaba nga FDC ebananenya olwobukulembeze obubi, nayenga tebagala kutekawo mbeera eyokuteesa.

Ategezeza nga guno bwegubadde omukisa omulungi okusisinkana omukulembeze we gwanga, okulaga obutali bumativu bwabwe mu nsonga zobukulembeze bwe gwanga.

Wano asubizza nti bbo webali, era nawaobweyamu obutava mu mukago guno ogutaba ebibiina ebirina ababak mu palamenti.

Mungeri yeemu ebibiina byobufuzi bisabiddwa okweyambisa olukungaana luno okutekawo embveera yokuteesa.

Mu bigambo bye ssabawandiisi wa IPOD Frank Lusa agambye nti olukungaana luno lwabayfaayo, mu lutalo lwokunyweza enfuga eya democrasiya.

Agamba nti kino kyakuyamba okukwatagana kulwobulungi bwe gwanga.

Eno abakulembeze bebibiina ebyenjawulo okuli owa DP Nobert Mao, owa UPC Jimmy Akena, owa NRM Yoweri K. Museveni, nowa JEEMA Asuman Bsalirwa batudde wamu okuteesa ku byobufuzi bya Uganda.

Abalala kuliko abakulembeze bebibiina abalala, nga Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba, owebyokulonda Dr Tanga Odoi nebiralal.

Okusinziira ku musasi waffe Ritah Kemigisa, ebiffo byaboludda oluvuganya gavumenti, ebisinga bikalu.

Leave a comment

0.0/5