Bya Moses Kyeyune.
Parliament ye gwanga eyisizza ekiteeso ekireteddwa omubaka we Masaka Mathias Mpuuga, nga kino kyekiragidde gavumenti okuliyira abatuuze be Lusanja olw’omusajja eyali yeyita nyini taka Mederad Kiconco okumenya amayumba gaabwe.
Palamenti okutuuka ku kino kyadiridde munamateeka wa government William Byaruhanga okutegeeza palament nti ekiragiro kya kooti ekyagoba abantu bano kutaka kyaki kikyamu.
Kati wano Mpuuga waasinzidde naagamba nti akageri ekikiri nti buno bwali bunafu bwa government, era egwana ekwate mu nsawo esasule abaakosebwa bonna.