Skip to content Skip to footer

Pulezidenti agamba talina gyalaga- abamuvuganya bakakane.

By Ritah Kemigisa.

Omukulembeze we gwanga aliko akaama kaakubye bannayuganda kko n’abavuganya government nti tanatwala kadde kulowooza ku kyakuva mu buyinza, kale ababade balowooza nti agande, bandiba nga tebalina njawulo n’abaloota.

President okujjayo ebyama bino abadde wano e Munyonyo mu tabamiruka w’ebibiina byonna owa IPOD.

Ono agamba nti aline ekigendererwa ekikyamusibye mu buyinza, kale nga okujjako nga amaze okugagawaza bannayuganda ko n’okunyweza eby’okwerinda ebyokugenda tayinza kubirowoozako.

Ono agambye abamusiibyeko akanyaga nti babiveeko kubanga ye  simunabyabufuzi nga bbo wabula ye mulunzi wa nte, era nga buli kimu akitwala n’obwegendereza obutagambika.

President okukaawa okutuuka n’okwogera ebyama, amaze kuwulira  kusaba okuvudde eri munna DP Nobert Mao nga ono amusabye nti kino akikole ku lw’obuulungi bwe gwanga akeere nga atagenderedde ave ku ntebe  olwo uganda etereere.

Leave a comment

0.0/5