Bya Abubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 45 anywedde waragi amutiddewo.
Omugenzi ye Bosco Luwemba omutuuze we Kayabwe mu gombolola ye Buyengo e Jinja, nga kigambibwa nti yanywedde obu-sacketi bwa waragi, oluvanyuma lwokuwakana, ngabamu babadde bawakanna nti tasobola kwekubalago, wabula tawonye.
Ssentebbe we kyalo Karim Mulimira akaksizza bino, nategeeza ngomugenzi bwalese abaana 9.