Skip to content Skip to footer

Ababbi bazinzeeko ebyalo e Mpigi nebanyaga ebiwerako

Bya Sadat Mbogo

Ababbi bazinzeeko ebyalo mu gombolola y’e Buwama mu district ey’e Mpigi mu kiro ekikeesezza olwaleero nebanyagulula abantu nga tebatalizza ne kanisa ya St. John Bosco Catholic Church.

Okusinziira ku kansala w’ekitundu kino mu lukiiko lwa district, Joseph ssempijja, ababbi obwedda batambulira mu bibinja nga babadde n’emotoka eya buyonjo obwedda gyebeeyambisa okutikkamu byebabbye.

Ku byebabbye, kuliko entebe, tv, computer, woofer, emifaliso, engoye, ebintu by’amaduuka, enkoko n’ebirala.

Police n’abakulembeze mu kitundu kino bagambye nti bakola
butaweera okufuuza bakyala kimpadde bano bakwatibwe.

Leave a comment

0.0/5