
Akakiiko akataba bannadiini abatali bamu kagamba nti tekannaba kufunako kiwandiiko kyonna okuva eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga ku kwetaba mu kukubaganya ebirowoozo.
Kiddiridde ab’ekibiina kya NRM okukinogaanya nnti pulezidenti Museveni ssi wakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku bannayuganda olwo ne Dr Kiiza Besigye n’akikkatiriza nti ssinga Museveni bw’atagenda naye talina gy’alaga.
Ssentebe w’akakiiko akategeka omulamuzi James Ogoola agamba nti enteekateeka eno yakugenda mu maaso era nga bayise n’abakugu okuva mu matendekero aga waggulu ng’abantu abasoba mu 1000 beebagenda okubaawo.
Akakiiko kano kagamba nti okukubaganya ebirowoozo okusooka lwa kutaano ate okuddako kubeewo nga 10 omwezi gw’okubiri.