Bya Samuel Ssebuliba.
Bannayuganda basabiddwa okwewalira dala okusala enguudo omuli emigga egibooze, kubanga kino kyabulabe era nga kiviirideko bangi okufa.
Bino bigidde mukadde nga omugga Mayanja wano e Wakiso gwakabooga negugala amakubo, songa n’omugga Lwajjaali wano e Mukono gwakaggala oluguudo olugatta Kasawo- zirobwe .
Twogedeko n’aduumira police eduukirira ebigwa tebiraze Joseph Mugisa naagamba nti abatambuze bagwana bakozese obukakamu balinde amazzi gakakane , sosi kumala gasala.