Okuwulira omusango gwa namwandu w’omugenzi Eria Sebunya banji gwebamanyi nga Kasiwukira kwongezeddwayo.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Happiness Ainebyona okutegeeza kkooti nti okunonyereza tekunaggwa.
Wabula kino kijje omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ye Makindye Richard Mafaabi mu mbeera neyebuuza lwaki oludda oluwaabi lwawaaba omusango guno nga tebanamaliriza kunonyereza.
Mafaabi ategezezza nga abawawabirwa bwebamaze ebbanga eddene ku alimanda wabula omusango era n’agwongerayo okutuusa nga 24 March 2015.
Sarah Nabikolo ne mugandawe Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi Ashraf Dedeni bavunanibwa ku bigambibwa nti bebaalo emabega w’okutibwa kwa Kasiwukira bweyatomerwa mmotoka n’ebulawo nga akola duyiro kumpi n’amaka ge wali e Muyenga omwaka oguwedde.