Yadde nga waliwo obutakkaanya , gavumenti yakukolagana bulungi ne kkooti y’ensi yonna era baweeyo obujulizi bwonna obwetagisa ku musango gw’eyali omuyeekera wa Kony Dominic Ongwen.
Nga asisisnkanyemu ssabawaabi wa kkooti eno Fatou Bensouda, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ategezezza nga bwebaalina okuwaayo Ongwen eri kkooti y’ensi yonna kubanga emisango gyeyazza gyali mu mawanga agenjawulo nga ate y’akwatibwa mu ggwanga ddala.
Museveni era asabye ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita okuwa kkooti y’ensi yonna buli kyeyetaaga ku musango guno.
Ku bugenyi bwe kuno ssabawaabi wa kkooti y’ensi yonna Fatou Bensouda yasiimye obuyambi bwonna obubaweereddwa ku musango gwa Ongwen oluvanyuma lw’okusisinkanamu abakulembeze abenjawulo.
