Poliisi ye Sembabule eriko abantu 3 bekutte oluvanyuma lw’okuzuula emmundu n’amasasi 17 mu kikwekweto kyekoze mu bitundu ebyenjawulo.
Abakwatiddwa kuliko namukadde ow’emyaka 60 Arajabu Nabakooza, mutabaniwe n Muhammad Mulengera ne mukwanogwe atannategerekeka abatuuze ku kyaalo Kyera mu gombolola ye Lwemiyaga.
Bano baakwatiddwa oluvanyuma lwomu ku munaabwe okubibwako emitwalo 80 ku mudumu gw’emmundu .
Omwogezi wa poliisi mu maserengeta g’eggwanga , Noah Serunjogi, akakasizza okukwatibwa kw’abasatu bano n’ategeeza nga okunonyereza bwakukyagenda mu maaso.
Serunjogi agamba basoose mu maka ga Mulengera gebaazizza nebazuula ekimundu ky’okuzanyisa n’amasasi 12 nga kino kibawalirizza okweyongerayo mu maka ga nyina gyebagwiridde ku mundu ey’ekika kya AK 47 nga erimu amasasi 5.
Agamba bano baakugulwako misango gyabubbi nakubeera na bissi nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.