Bya Ivan Ssenablya.
Omukubiriza w’olukiiko olwa district ye Mukono Emmanuel Mbonnye, yemulugunyiza ku kubulankana kw’ensimbi z’akasiimo k’abakozi.
Ono agamba nti webaggira mu bukulembeze ng’obukadde 600 zezibanjibwa mu kasiimo era kanso neragira zisasulwe, naye ate obukadde 800 kyazuuka nti zezakozesebwa mu kifo ky’obukadde 600, kale nga obukadde 200 zagendera mu kavuyo.
Mu lutuula lwa council olusembyeyo kyakanyizibwako, era akakiiko nekatondebwawo kanonyereze ku bigambibwa nti amasomero agayambibwako gavumenti, galimu abayizi ab’e mpewo.