Bya Malik Fahad.
Bakansala be Kalungu bayisizza ekiteeso ekijja obwesige mu akulira eby’enjigiriza mu district eno , nga okusalawo kuno bakwesigamizza ku kunonyereza okwakolebwa kalisoliiso wa government.
Bano basinzidde mu lukiiko olukubiriziddwa sipiika kwa district eno Abdu Bbale nebakaanya nti omukulu David Bbaale Mukasa agobwe kubanga talina bisanyizo.
Bano bagamba nti kati emyezi 6 nga kalisoliiso wa government amaze okukizuula nti ono talina biwandiiko, kyoka akyalemedde mukifo kino, kyebamba nti kikyamu.