Bya samuel ssebuliba.
Banna- uganda basabidwa okuyingira ekisiibo n’obumalirivu obw’okukuma obutonde bwensi.
Bwabadde ayogerera mukusaba okw’okusiiga vvu wali ku parliament amakya ga leero ssabalabirizi we kanisa ya uganda kitafe mu katonda Stanley Ntagali agambye nti singa ekyamangu tekikolebwe, uganda eyolekedde okufuuka edungu lyenyini.
Ono nga tanayogera eyaliko minister w’ebyempisa James Nsaba Buturo yeyasoose okusaba banna- uganda ku mitendera gyonna okukiririza mubumu.
Ono agambye nti banna- Uganda beetaga okubeera ebegendereza nga bagobeere endowooza ezimu ez’ebyobufuzi, songa mungeri yeemu asabye nababaka ba palament okubeera obumu beewale enjawukana.
Ewalala ewali okusaba okw’okusiiga vvu kuliko Christ the King, All Saints Cathedral Nakasero , Namirembe ,Rubaga newalala.