Abantu 3 bafiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Abagenzi bategerekese nga Ronald Muluhura omutuuze mu tawuni y’e Masaka, , James Mutawe omuvuzi wa bodaboda n’omukazi atanategerekeka nga bonsatule babadde batambulira ku pikipiki emu.
Akabenje kano kagudde wali e Villa nga kiddiridde kiloole ekika kya Fuso ekibadde kifumuka obuwewo namba UAM 0254 okutomera bodaboda abasatu bano kwebabadde batambulira.
Aberabiddeko n’agaabwe bategezezza nga Ki Fuso kya kampuni enkozi y’ebizigo bya Movit ekibadde kidda e Mbarara bwekikoze akabenje kano
Aduumira poliisi y’ebidduka e Masaka , James Tebaijuka akakasizza akabenje kano n’ategeeza nga bwekavudde ku kuvigisa ekimama okuva eri omugoba wa Fuso.
Tebaijuka agamba poliisi etandise omuyiggo gw’omugoba w’ekimotoka kino nga bwebakyanonyereza ku kabenje kano.
Mungeri yeemu alabudde abavuzi ba bodaboda obutatikka musaabaze asukka ku omu kubanga kizibu okuwona singa bagwa ku kabenje.
Emirambo gy’abagenzi gitwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka.
Bbo abatuuze ku luguudo luno e Villa bagamba nti ekifo kino kafuuse kattiro nga basaba kuyambibwa.