Poliisi ye Malongo mu disitulikiti ye Lwengo eriko abantu 3 bekutte ku by’okutibwa kw’omusajja ow’emyaka 24.
Abakwate bategerekese nga Mathias Nsubuga , Robert Kalanda ne Flavia Namuddu oluvanyuma lw’omugenzi ategerekese nga Bukenya okutibwa.
Okunonyereza okusoose kulaze nga bano bwebasemba okulabibwako n’omugenzi nga omulambo gwe tegunasangibwa nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi, bano balondoola Bukenya okuva mu bbaala oluvanyuma lw’okumulaba nga alina ssente era bazudde n’engoye okuli omusaayi ku ngoye z’omu ku mukwate.