Skip to content Skip to footer

Basuulibwa mu ddwaliro

Mulago hospital

Eddwaliro ekkulu e mulago liri mubwelalikirivu olw’abalwadde abangi abaleetebwa yo nga tebalina bajjanjabi.

Olunaku lwaleero lwokka abalwadde abawerera ddala 10 bebabadde muziwadi ezenjawulo nga tebalina babajjanjaba.

Omu  kw’abo gwetwogeddeko naye agamba nti amanya ge ye Emmanuel Wanati omutuuze we kibuli  agamba nti amaze mu ddwaliro kati omwezi gumu nga tewali yazze kumulambula yadde amulabirira kukitanda

Ye akulira eby’okulongosa abalina obuzibu ku bwonga Dr.Mike Muhumuza agamba nti obuzibu bwebasinga okusanga kwekwambaza abalwadde abo abatalina bajjanjabi ng’ate abasinga babeera bali mu mbeera mbi

Leave a comment

0.0/5