Skip to content Skip to footer

Baziikudde abafu

ntaana

Poliisi ye Bukomansimbi  etandise okunonyereza ku bantu abatanategerekeka abalumbye ekyalo kye Kiwenjula nebasimula  entaana 2 nebakuliita n’emirambo egyabaddemu.

Abagenzi  Birizita Nakibule ne bba  Alleni Bukenya abaafa mu 1987 beebasimuddwa.

Bbo abatuuze balumiriza nti teri kulonzalonza basawo b’ekinanasi bebasimudde abafu baabwe.

Wabula yye omu ku b’enganda z’abagenzi  Elias Bukenya agamba wandiba nga waliwo ab’enganda baabwe abalala abaasimudde abafu bano nga baagala okutunda ettaka ly’ekijja kino.

Ye omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Noah Sserunjoji, akakasizza kino n’avumirira ekikolwa ky’okutataganya eddembe ly’abafu.

Leave a comment

0.0/5