Skip to content Skip to footer

Bbomu ebaluse

SURVIVOR 2

Poliisi eri mu kunonyereza ku bantu 2 abatiddwa  bbomu ezaalekebwa mu ttaka ku kyalo Kamusenene mu disitulikiti ye Nakaseke.

 

Abagenzi bategerekese nga  Dan Ssemakadde ne  Simeo Mukwaya Kabaya sso nga waliwo omulala alumiziddwa ategerekese nga Abdul Kasakya,omutuuze mu disitulikiti ye Kayunga.

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savanah  Lameck Kigozi agamba bbomu zino zandiba nga zalekebwayo mu lutalo nga era zibwatuse abagenzi bwebazikoonyeko  nga bookya amanda.

 

Kigozi agamba bakyalinda abakugu ku bya bbomu okuva mu ggye lya UPDF okwetegereza ebadde bbomu kika ki.

Leave a comment

0.0/5