Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti Dr Kiiza Besigye akyaleebya Gen Mugisha Muntu mu mpaka z’ani anakwata bendera y’ekibiina
Okunonyereza kuno okukoleddwa aba Research world International eraze nti Besigye akulembedde Muntu n’ebitundu 86% ate nga yye Muntu alina ebitundu 14%
Akulira ekibiina kino Dr Patrick Wakida agamba nti abantua basing beebabuziizza bakkiriza nti Besigye y’alina obuvumu obwanganga Museveni mu mwaka 2016
Mu ngeri yeemu okunonyereza kulaga nti bannayuganda abaweza ebitundu 82 ku kikumi ba NRM, 13 ku kikumi ba FDC ekitundu 1% ba DP era nga ne UPC erina ekitundu kimu.