Skip to content Skip to footer

Besigye yekokodde obukambwe bwa poliisi

Bya Prossy Kisakye, Eyaliko omukulembezze w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye avumiridde obukambwe bwa poliisi obuyitiridde obwamukoledwako n’abawagizibe olunaku lwajjo.

Olunaku lwajjo Poliisi yawaliriziddwa okukozesa eryanyi okusobola okugumbulula Bannakibiina kya Forum for Democratic Change nga yafundikidde eyasizza endabirwamu y’emotoka ya besigye kwossa n’okumukuba amazzi n’amasasi bweyabadde ebalemesa okugenda e Namboole ku kisaawe.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku yafeesiye mu Kampala, Besigye ategeezezza nga obukabwe buno bwe bwabadde bugenderedde okumalawo obulamu bwe nga singa abasajjabe tebakozeseza obwangu okumutaasa oba olyawo yandibadde mufu kati

Mungeri yemu alumirizza omusirikale wa poliisi Rashid Agero okumenya endabirwamu y’emotookaye okwagala okumukwata.

Wadde nga biri bityo poliisi ekalambidde nga olukugaana luno lw’abadde teluri mu mateeka.

 

Leave a comment

0.0/5