Skip to content Skip to footer

Bobi Wine bamukutte

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ekutte omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine kati bamuzizaayo mu maka ge e Magere.

Kino kidiridde poliisi okulwanagna nabawagizi be kulwe Busaabala, ku musanvu ogusooka gwebabadde bamuddewo, okumukugira okutuuka ku One Love Beach, awabadde wasabirwa okubeera ekivvulu kya Kyarenga Extra olwaleero.

Kati poliisi abawagizi ebakubye omukka ogubalagala, nebagumbulula, oluvanyuma neyasa endabirwa ye mmotoka ya Bobi Wine, mwabadde yesibidde nebagulawo nebamukwata.

Atwala ebikwekweto mu poliisi Asuman Mugyenyi olunnaku lwe ggulo yafulumizza ekiragiro, nawera ebivvulu bya Bobi Wine byonna.

Poliisi egamba nti abategesi babadde ebgoberedde mitendera.

Mungeri yeemu poliisi ekutte abategsi Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex, Bajjo and Eddie Ssebuufu commonly known as Eddie Mutwe the personal body guard to MP kyagulanyi.

Mungeri yeemu twogeddeko nabamu ku badigize ababde bazze, okulya ku ssente zaabwe ngenjogera bweri.

Bano bakukuluma.

Leave a comment

0.0/5