Bya Ritah Kemigisa
Ebiri ku mubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, tekyali nsonga ya poliisi okukwasisa amateeka, wabula kati kulwanagana naye olwobuyinza.
Bino byogeddwa omubaka wa munispaali ye Bugiri Asuman Basalirwa nga ye munamateeka wa Bobi Wine, oluvanyuma lwa poliisi okuelmesa ekivvulu kye ekya Kyarenga extra olunaku olwe ggulo.
Poliisi yayasizza endabirwamu ye mmotoka ye nemujjayo nemuazza mu maka ge e Magere.
Basalirwa agamba nti kati kirabika gavumenti ddala eri mu kutya, era tegenda kuddamu kumukiriza kuyimba.
Poliisi yategeeza nti abategsi bebivvguilu by tebagoberera mitendera egyebyokwerinda.
Wabula Bobi Wine yalangiridde nti wakuwandikira poliisi, ngajitegeeza ku ntekateeka zaabwe ezokwekalakaasa mu mirembe, ngalaga obutali bumativu.