Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza obuganda ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bw’agenda okuddiza obwakabaka bwa Buganda ebyapa 80 nga bwekyakkiriganyizibwako mu ndagaano eyatuukibwako mu mwaka gwa 2013.
Kinajjukirwa nti gavumenti yakakomyawo ebyapa 213 eri obwakabaka bwa buganda.
Mayiga era agambye nti Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi yamaze dda okuwandiikira minisitule y’eby’okwerinda, minisitule ekola ku nsonga z’omunda, essigga eddamuzi wamu ne minisitule ya gavumenti ez’ebitundu okulungamya obusenze bwaabwe ku ttaka lya Kabaka.
Mayiga era agambye nti obuganda bumaze okuddizibwa enyumba ya Butikkiro ebadde yeyambisibwa ekitongole ekinonyereza ku kawuka ka sirimu.