Skip to content Skip to footer

Busoga ne Kigezi gyebasinga okugula obululu

Ebitundu bye Busoga ne  Kigezi byebikyasinzemu okugulirira abalonzi mu kampeyini ezigenda mu maaso.

Bino bifulumidde mu alipoota ekunganyiziddwa ab’ekibiina ekilwanyisa obukenuzi ekya anti-corruption coalition Uganda.

Akulira ekibiina kino  Cissy Kagaba agamba bakizudde mu kunonyereza kwabwe nti abasuubuzi kati bagenda mu nkungaana z’ebyobufuzi nga basuubira okuweebwa ebirabo.

 

Kagaba agamba kino kyakukosa akalulu ka 2016 olw’abantu okusubira nti buli ayagala akalulu alina kubagulirira.

 

Bino abyogedde atongoza wiiki y’okulwanyisa obuli bw’enguzi ekomekerezebwa nga 9 December 2015.

 

Wiiki eno etambulira wansi w’omubala ogugamba nti “ Tulina okugaana okugula n’okutunda obululu”.

Leave a comment

0.0/5