
Akulira ekibiina kya PDP, Dr Abed Bwanika akolimidde abaganda olw’obutamulaga buwagizi nebakukuta n’abalala
Bwanika agamba nti mu kampeyini yonna gy’ayise abantu betegefu okumulonda kyokka nga bamukuutira ku ky’abaganda benyini obutamuwagira ekintu ekimuluma.
Bw’abuuziddwa oba by’ayogedde tebyawula mu mawanga, Bwanika agmbye nti kino akikoze okusaba Baganda banne akalulu kubanga kijja kubayamba mu biseera by’omu maaso.
Ono agambye nti wakusigala ng’akakasa nti nti y’asinga okugwanira ekifo kino okutuusa nga bamukkiririzzaamu
Bwanika guno gwa kusatu nga yesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.