
Ab’ekibiina kya Democratic Party bakakasizza nga bwebagenda okusimbawo muganda w’omugenzi Suzan Namaganda ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Bukomnasimbi.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lwa Namaganda okufa olw;ebisago byeyafuna mu kabaneje nga 11 December omwaka oguwedde.
Akola guno naguli mu kibiina kya DP Peter Sempijja ategezezza nti oluvanyuma lw’omuntu waabwe okusunsulibwa olunaku lw’enkya bakukuba olukungaana e Bukomansimbi.
Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, nga ogyeko ekifo ky’e Bulomansimbi, waliwo ebifo ebirala 4 ababaka baabyo abaafa nga abesimbyewo bakusunsulibwa olunaku lwaleero n’enkya.