Bya samuel ssebuliba.
Mu genaku tutegeezedwa nga Dr Lawrence Kaggwa bwafudde nga ono yakulirako edwaliro lye mulago okumala ebanga lya myaka 12 okutuusiza dala wano mu 2005.
Ono okutuusa okufa abadde mulwadde okumala akabanga okutuusa lwawedemu omukka amakya ga leero wali e mulago ku dwaliro elijanjaba eb’emitima
Twogedeko ne Grace Mirembe nga ono yayogerera edwaliro lino nagamba nti , Dr Kaggwa abadde e mulago okumala enaku 24 nga ekirwadde kino kimutawaanya.
Waafiride nga yawumula emirimogye egyekisawo,wabula nga yali mukugu mukulongoosa, songa era yali musaale mukusomesa abasawo kakano abali mu gwanga ku mitendera egy’enjawulo.
Ono afiiride ku myaka egy’obukulu 68.