Bya Ivan Senabulya
Police mu district ye Kisoro etandise okunonyereza kunfa y’omusajja amanyidwa nga Mugisha Stuat.
Omugenzi nga atemera mu gy’obukulu 28 abadde mutuuze we Kiburara mu gombolola ye Gisorora
Ono kigambibwa nti yatambuddeko eggulo mu katawuni ke kyapa trading center wabula teyakomyewo waka
Omulambo gwe gw’asangibwa ku mabali g’ekkubo nga amenyedwa amagulu nga alina n’ebiwundu ku mubiri
Omwogezi wa poliisi mu bitundu ebyo atubulidde nti Omulambo gwe gutwalidwa mu ddwaliro e mutolere okwongera okugwekebejja.