Bya Prossy Kisakye
Poliisi mu disitulikiti ye Kabale etandise okunonyereza kunfa y’omubuvuka asangidwa omulambo gwe nga gutengejera ku Mugga
Okusinzira ku mulambo omwana abadde Mulenzi nga atemera mu gy’obukulu nga 12, ono yasangidwa ku mugga Kiruruma mu Municipaali ye Kabale.
Sentebe w’ekitundu Wilbrode Tumwesigyire yaatemeza ku poliisi ne gya n’enyulula omulambo
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate omulambo gulabika gumaze nga Ssabiiti nnamba mu Mugga era nga gubadde guvunze.
Ono ategezeza nti gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Kabale okwongera okwekebejebwa okuzuula eky’amusse ekituufu.