Skip to content Skip to footer

Museveni- Mwanguyirizeko bamusiga nsimbi

Bya Moses Ndhaye

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni akubiriza bannauganda okwanguyirizako bamusiga nsimbi abababaze okukulakulanya ebitundu byabwe.

Bino abyogeredde mu disitulikiti ye Agago ewategekedwa emikolo gy’abakozi.

Museveni agamba nti ensi tekulakulana na byabufuzi wabula abantu be balina okubaako kye bakola eggwanga okugenda mu maaso.

Ono mungeri yemu agumiza abatuuze be Agago nti wakubawa ab’eby’okwerinda babataase ku babbi b’ente ababatigomya.

Pulezidenti era akubiriza bannauganda okugenda mu malwaliro okw’egemesa endwadde nga hepatitis B basobole okuba abalamu obulungi.

 

Leave a comment

0.0/5