Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Kigombya e Mukono baguddemu ekyekango, munabwe bwafiridde mu bikwekweto ebikolebwa abakulembeze b’ekibuga okujja okujja abasubuzi ku mabbali genguudo.
Omugenzi ye Marvin Kibirige owemyaka 20 ng’abadde ayokya nyama y’ambuzzi mu kifo ekimu ekisanyukirwamu mu kitundu.
Abakwsisa amateeka nga bakulembeddwamu Hilary Mulungi, akulira ebyokutekeratekera ekibuga babadde basenda, obumpadde, obudduka, emiddala, amayumba n’ebirala.
Omugenzi mu kutaasa ebiobye, kigambibwa nti amasanyalaze gamaukubye nasigalako kikuba mukono nadisibwa mu ddwaliro lya Mukono Health Center IV gyaffiridde.
Wabula ye ssentebe wa Mukono Central division Jamil Kakembo bwatukiriddwa avumiridde ekikolwa kino.
Omulabo gutwaliddwa ku kyalo Nyenje mu Goma division gyagenda aouzikibwa.