
Ekitongole ekigereka ebbeeyi y’amasanyalaze kigongezza.
Mu nteekateeka empya, abagakozesa ewaka bongeddwamu siringi 13 okuva ku 558 buli yuniti, abagakozesa emirimu emitonotono bongeddwamu siringi 12 okuva ku 492 sso nga abamakolero kati bongeddwamu siringi 8 okuva ku 320.
Omwogezi w’ekitongole kino Julius Wandera ategezezza nti bawaliriziddwa okwongeza ebbeeyi lwasiringi ya Uganda kwongera kunaabuka.
Ebisale bino ebipya bitandika okukola okuva mu July okutuuka mu September 2015.