Skip to content Skip to footer

Ebibira bya Uganda bisemberedde okuggwaawo.

Bya Paul Tajuba

Kizuuse nga Uganda yayakafiirwa ebibira ebiweza ebitundu 30% mu myaka 20 egy’akayita

Kino ekyama kibotoddwa director akola kubutonde bwensi Paul Mafabi,- mukaseera kano nga  uganda yetegekera okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku lw’obutoonde bwensi.

Ono agamba nti newankubadde enkuba gyetufuna mu uganda ebitundu nga 40 % eva mu bibira, banna-uganda tebabirabyeemu kaabuntu bisaanyawo.

Ye minister wa uganda akola ku butonde bw’ensi Sam Cheptoris agamba nti omululu gwabannayuganda , kko n’okwagala ebyamangu gwegubawala okusanyaawo ebibira bino.

Olunaku luno luganda kukuzibwa nga February 2.

 

Leave a comment

0.0/5