Skip to content Skip to footer

Ebya P.7 bifulumye- ebigezo by’abayizi 1,424 bikwatiddwa

Mande, Alupo and Bukenya

Ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu bifulumiziddwa.

Abayizi abalenzi basinze abawala okukola obulungi ate nga lyo essomo ly’ebyafaayo( SST) lyeryasinze okukolebwa obulungi

Kuno kuzzeeko okubala(Maths) nekuddako Sayansi  ate nga lyo essomo ly’oluzungu  likoleddwa bubi

Ezimu ku disitulikiti ezikoze obulungi kuliko, Wakiso, Kampala, Mbarara , Mukono n’endala ate nga yyo Bukwo y’esinze okukola obubi

Ebigezo by’abayizi 1,424 bikwatiddwa lwakubba bigezo.

Bano kiteberezebwa okuba nga bayambibwaako abasomesa baabwe

Agamu ku masomero agakoseddwa kuliko Masajja modern, 26 St Matia grammar e Mpigi ,Ndejje view, Mayirikiti n’amalala.

Leave a comment

0.0/5