Kampala capital city ewuluddeyo ebipande byonna ebyatimbibwa mu Kibuga
Ekikwekweto kino ekyakoleddwa ekiro kyatandikidde ku luguudo olugenda e Jjinja , okudda e Wandegeya nga tekinnaba kweyongera mu bifo ebirala.
E Wandegeya, wabula wabaddewo okusika omuguwa, abasirikale ba KCCA bwebalwaanye ne bannanyini bipande mu kitundu kino
Kigambibwa okuba nga KCCa ebadde n’obutakkaanya ne bannanyini bipande bino nga kigambibwa nti tebalina musolo gwebabifunamu
Kawefube w’okufuna omukungu yenna mu ofiisi y’eby’amawulire mu kitongole kino agudde butaka kubanga bonna bagaanye okukwata amasimu gaffe