Skip to content Skip to footer

Eddwaliro ekkulu e Masaka lifunye obuyambi

Bya Malik Fahad,

Abatwala Eddwaliro ekkulu e Masaka bategezeza nga bwebafunye ensimbi ezigenda okumaliriza ekizimbe okuli ekya baana na bakyala we bazaalira.

Ekizimbe kino kisuubirwa okutekebwamu ebitanda nga 400 era nga kyakukendeza ku mbeera yomujjuzo ebadde abakyala we bazaalira.

Okusinzira kwakulira eddwaliro lino Dr Nathan Onyachi, ekizimbe kiwedde ne bitundu 93% era wetunatukira mu mwezi ogwa kasambula omulimo ogusigadde gujja kuba guwedde

Era agamba nti ku mwaliro ogusooka webagenda okuteeka ekifo awatukira abayi

Onyachi agambye eddwaliro lyafunye akawumbi kalamba nga nesnimbi ezisigalidde bakuzifuna omulimo gutambule

 

Leave a comment

0.0/5