
Abakugu mu bye’nfuna balabudde nti ebyenfuna by’eggwanga byakwongera okunafuwa singa ebyobufuzi mu ggwanga tebitebenkera.
Olunaku lweggulo banka y’eggwanga enkulu y’alinyisizza amagoba banka endala kwezewolera ensimbi nga kale abasinga batidde nti nazo zandirinyia kweziowolera bannayuganda.
Abamu ku bakugu ebyenfuna okunafuwa bakiteeka ku siringi ya Uganda kwongera kunabuuka wabula ye Ramadhan Goobi embeera y’ebyobufuzi nga gavumentyi erwanagana n’abagivuganya kyekiviriddeko bamusiga nsimbi okudduka mu ggwanga.
Ggobi agamba nga eggwanga lyolekera okulonda, bamusiga nsimbi banji balimu okutya ku bzizineesi zaabwe olwo banji nebadduka mu ggwanga nebaleka ebyenfuna nga biri yegeyege.
Mu kiseera kino doola egula 3200, oluvanyuma lw’okutuuka ku 3600.