
Poliisi ye Bukomansimbi eriko omusajja gw’ekubya amasasi n’emutta bw’asangiddwa nga yemakulira ku mulongooti gwa kampuni y’amasimu eya Airtel.
Paul Ssemakula omutuuze we Zana wano mu Kampala y’akubiddwa amasasi agamutiddewo oluvanyuma lw’okumusanga lubona nga apangulula omulongooti e Bukomansimbi.
Semakula okutibwa kyaddiridde omukuumi w’omulongooti guno Job Okello okukubira poliisi essimu eyazze n’emukuba amasasi.
Kigambibwa nti Ssemakula ne banne abaasobodde okwemulula nebadduka batuuse ku mulongooti guno ku ssaawa nga 8 mu ttumbi nebatandika okupangulula ebyuma.
Okunonyereza okwakakolebwa kulaga nga ssemakula bw’abadde omu ku bakanika omulungooti guno.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sseunjogi ategezezza nga poliisi bwesobodde okukwata ne kiloole ki Fuso UAG 690G okwabadde kutikibwa ebyuma ebyabadde bipangululwa.