
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basabye gavumenti okuzzawo n’okuzza buggya endagaano ya ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga.
Endagaano ye y’aggwako mu mwezi ogwokuna
Eyali ssentebe w’akakiiko kano Margret Ssekajja agamba okulwawo okuzzawo akakiiko kano kuba kutyobola ddembe ly’obutu.
Agamba mukiseera kino abantu baagala kuyambaibwa olw’edembe lyabwe okwongera okulinyirirwa wabula nga tebafunye bwenkanya olw’obutabaawo bukulembeze bw’akakiiko kano.
Ate abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu wamu n’embuga z’amateeka basabiddwa okuyingira mu nsonga za poliisi okwongera okukozesa eryanyi.
Omubaka wa Busiro East Medard Lubega Ssegona agamba poliisi egenda mu maaso n’okukwata abavuganya gavaumenti awatali kikoleddwa kubavunaana.
Wabula ye ssabapoliisi w’eggwanga Ge n Kale Kayihura agamba bakolera wansi w’etteeka erilungamya enkungaana eritaputibwa ekifulanenge bannabyabufuzi.