Skip to content Skip to footer

Eddwaliro lya’bakyala baliwaddeyo eri gavumenti

Bya Shamim Nateebwa

Ba contracta aba-warabu abaweebwa omulimu, gwokuzimba eddwaliro lyabakyala ba nakabutuzi e Mulago, baalijjeeko engalo era olwaleero baliwaddeyo mu butongole eri gavumenti.

Omukulolo guno gwetabiddwako Ssabaminista we gwanga Dr Ruhakana Rugunda, nga lyakuggulwawo nga 17th omwezi guno wabula litongozebwe omukulembeze w egwanga mu butongole mu wiiki esooka eya October.

muno mwatereddwamu ebitanda 400, nga bijja kuba byakusasulirwa era likolenga ku abo bokka abalemererddwa mu malwaliro agenjawulo mu gwanga.

 

Wano asabye bann-Uganda betanire okukozesa amalwaliro agabali okumpi.

Eno bakukolanga ku birwadde ebikambwe mu bakyala, ebyekuusa ku kuzaala, okujanjabanga abembuto, okujanjaba okuttonnya neburalala ebizoganya abakyala.

Leave a comment

0.0/5