Abatuuze abawangaalira mu gombololla ye kyalulangira mu District ye Rakai beekokodde enjala etuusizza abasajja okunoba mu maka ne babalekera abaana nga ne mu kiseera kino abaana tebakyagenda ku masomero olw’okubulwa eky’okulya.
Abazadde babadde bakungaanidde mu kabuga ke kibaale ku ddwaliro nga bakubaganya ebirowoozo ku ngeri eddembe ly’abaana gyerityoboddwamu.
Omusomo gwategekeddwa ekitongole ekya Rakai counselor’s Association ( RACA) nga kino kirafuubana okulaba nga eddembe ly’abaana terityoboolwa mu ngeri ez’enjawulo era nga emirimu gino bagikolera mu magombolola 3 okuli Kagamba, Kyalulangira ne kiziba.
Wabula ye akwatibwako ku nsonga ze kikula ky’abantu era nga y’avunanyizibwa ku by’enkulakulana ku gombolola Ssemwogerere Kiwanuka agamba nti kyalulangira mu bikolwa by’okulinyira eddembe ly’abaana eri waggulu nnyo omuli abazadde okusuula abaana ku poliisi ne ku makubo.
Kyokka ye omukwanaganya w’emirimu mu kitongole kya RACA Richard Sserwadda kiweewa agamba nti bakyagenda mu maaso nga basomesa abantu ku nsonga zino n’asaba abazadde okukuuma abaana baleme katambula kiro