Skip to content Skip to footer

Enjovu zibalumbye

Elephants kill

Abatuuze abasoba mu 300 mu disitulikiti ye Alebtong basula ku tebuukye oluvanyuma lw’enjovu 2 ezaakula neziwola okutoloka okuva mu kkuumiro ly’ebisolo.

 

Ssentebe wa LC 3  Geoffrey Ogoo ategezezza nga abatuuze be ku byalo okuli  Anara ne  Ogogong bwebatakyetaaya olw’enjovu zino.

Agamba banji tebakyasula mu mayumba gaabwe nga batya enjovu zino okubalumba nga ate zisaanyizzaawo ebirime byabwe ebyenjawulo.

 

Yye ssentebe wa disitulikiti eno  DK Odongo alabudd abatuuze bano okusigala nga bakkakamu baleme kulwanagana na njovu zino nga bwebalinda abakulira disitulikiti okubayamba.

Leave a comment

0.0/5