Skip to content Skip to footer

Enkulungo ya Nantawetwa akwasiddwa obwakabaka

Nantawetwa

Nga ebula ennaku 3 okutuuka ku mazaalibwa ga ssabasajja,ab’ekitongole kya KCCA baguddewo enkulungo ya Nantawetwa esangibwa wali ku luguudo lwa Kabaka Njagala oluvanyuma lw’okuyooyotebwa.

Enkulungo eno eyitibwamu ssabasajja kabaka yekka

Akulira emirimu mu KCCA  Jennifer Musisi agamba enkulungo eno esasanyiziddwako obuwumbi obusoba mu 3 kyaali kirowoozo kye ne banne okuli Hamis Kiggundu, Umar Nasooro ,Gordon Wavamuno, Mukasa Mbidde n’abenyumba ya Seroma.

Musisi agamba nabo awo batadde ettoofaali ku mazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto ku mande nga 13 .

Leave a comment

0.0/5