Bya Gertrude Mutyaba
Newankubadde Omwogezi wa Police mu ggwanga AIGP Assan Kasingye ajja agumya bannauganda nga embeera mu bendo-bendo lya Masaka bweri mu nteeko, abatuuze mu kibuga kye Lukaya mu district e Kalungu bazzeemu okusattira olw’ebibaluwa ebibasuuliddwa.
Abaalabuddwa abazigu basangibwa ku byalo bibiri okuli Kirinnya ne Kaliro nga kino kiddiridde omutuuze omu okukisanga nga kisuuliddwa ku kkubo nga kiwandiikiddwako ebigambo okuli Kijambiya Force nga bwebagenda okulumba nga 20 kyokka abalala nga baakulumbibwa nga 22 ne 23 omwezi guno.
Bano baagala poliisi eveeyo ebawe obukuumi olw’obunkenke bwebaliko.
Atwala poliisi ye Lukaya ASP Vianny Birungi asabye abatuuze okubeera abakakkamu n’abategeeza nga nabo bwebatakyebaka kubanga basula nabo bakukunadde nga bakuuma okulinda abatemu.
Ono atubuulidde nga ebibaluwa bino mu Lukaya webizze bisuulibwa mu bifo ebyenjawulo okuli e Bajja wamu ne ku Road Toll kyokka nga mu bifo ebyo temuli gwebaali balumbye.
Abantu bangi abazze batiisibwatiisibwa babijambiya kyokka nga poliisi ebiseera ebimu yeesuulirayo ogwa naggamba nga ewoza ng’abantu bennyini bwebeewandiikira ebibaluwa bino newankubadde ebiseera ebimu bituukirira.
Abantu abawerako bakwatiddwa ku nsonga eno kyokka nga abandi bateebwa nga tebavunaaniddwa ekireka abatuuze okwewunaganya oba nga ddala obulamu bwabwe tebuli mu matigga.